Amawulire

Okusabira Nkoyoyo kugenda mu maaso e Mukono.

Ivan Ssenabulya

January 8th, 2018

No comments

Bya Ivan ssenabulya.

Wetwogerera nga okusabira omwoyo gw’omugenzi eyaliko ssabalabirizi w’e  kanisa ya uganda Kitaffe mu katonda Livingston Mpalanyi Nkoyoyo kugenda mu maaso mu kanisa ya St Philips and -Andrews Cathedral e Mukono ewali okusaba okw’okukungubaga.

Tutegeezeddwa nti e kanisa ebooze enkuyanja y’abantu abazze okubaawo mu kusibula omukulu  ono eyaliko  omulabirizi w’obulabirizi buno nga tanakuzibwa kufuuka ssabalabirizi.

 

Bino nga biwedde, ssabalabirizi we kanisa ya uganda Kitaffe mu katonda Stanley Ntagali  atubuulide nti omubiri gw’omugenzi gwakutwalibwa  ku kiggwa ky’abajulizi e ky’abakulistayo e Namugongo  gyagenda okuziikibwa, okusaba kutandike ku saawa 9 am , okuziika kubeewo ku saawa 4 pm.

Omugenzi yafa ku lwakutaano wano ku kampala hospital ,obulwadde bwa pneumonia bwebwamusinza amaanyi.