Amawulire

Okusabira Minisita Engola okutongole kwa leero mu kisaawe e Kololo

Okusabira Minisita Engola okutongole kwa leero mu kisaawe e Kololo

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu.  Government leero etegeseewo okusabira omwooyo gw’omugenzi Minister Engola.

Okusaba kuno okutegekeddwa enkya ya leero ku kisaawe e Kololo nga ne President Museveni asuubirwa okukwetabako.

Minister Engola yakubwa masasi omukuumi we Wilson Sabiiti namuttirawo ate naye oluvanyuma neyetta mu maka ga Minisita e Kyanja ekisangibwa mu gombolola y’e Nakawa.

Kati Minisita avunanyizibwa ku nsonga z’ekikula n’okusitula embeera z’abantu Betty Amongi agamba nti okusaba kwa leero kwakwetabwako abantu bonna abakebeddwa Covid n’abatakebeddwa.

Minisita Amongi agamba nti abagemeddwa bakukozesa oluguudo lwa Elgon Terrace ate abatakebeddwa bakukozesa oluguudo lwa Wampeewo.

Oluvanyuma lw’okusaba, omubiri gwe gwakutwalibwa mu maka ge e Kyanja gyegunajjibwa olunaku lw’enkya ku lw’okuna gutwalibwe mu maka ge ag’omukyaalo mu district eye Oyam gyegunaziikibwa ku lunaku lw’omukaaga.

Olunaku lw’eggulo ono yakungubagiddwa Parliament mu butongole ng’omubaka abadde akiika yo ng’akiikilira abantu b’e Oyam North.