Amawulire

Okusaba kwakutaasa eggwanga- Museveni

Okusaba kwakutaasa eggwanga- Museveni

Ali Mivule

October 3rd, 2015

No comments

File Photo: Museveni nga wubirako abantu

File Photo: Museveni nga wubirako abantu

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Kaguta Museveni agamba nti essaala ziggya kuyamba okutereeza eggwanga lyattu Uganda

Ng’ayogerera mu kusaba okwategekeddwa bannadiini abasabidde emirembe mu kulonda okuggya, pulezidenti Museveni agambye nti omuntu asaba katonda amuwa era nga tewali kubuusabuusa , essala zino zakuvaamu ebibala

Pulezidenti wabula agambye nti essaala zigattibweeko okubangula abantu ku kalungi akali mu kukuuma emirembe olwo tewajja kubaawo kwejjusa.

Banaddiini okuli ssabasumba wa Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga, Ssabalabirizi Stanley Ntagali wamu ne banaddiini abalala beebetabye mu kusaba kuno.

Mu balala abali e Kololo kuliko omumyuka wa Ssabalamuzi Steven Kavuma, mukomukulembeze w’eggwanga Janet Museveni, pulezidenti w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu, owa Federal Alliance Betty Kamya, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu  n’abalala.

Bwabadde asabira eggwanga Janet Museveni asabye katonda,okusonyiwa bannayuganda olw’amayisa gaabwe amabi omuli okweyagaliza, effutwa, n’ebirala.

Okusaba kuno kukulembeddwamu akulira abalokole mu ggwanga Omusumba Joshua Lwere.