Amawulire

Okusaba kwa munnamateeka kugobeddwa

Okusaba kwa munnamateeka kugobeddwa

Ivan Ssenabulya

March 30th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ya Buganda road egobye okusaba kwa munnamateeka w’omu Kampala Felix Kintu Nteza owa Kintu Nteza and Company Advocates kwabadde ataddeyo nga ayagala emisango egimuvunanwa kampuni ya Interlink Education Services Ltd giyimirire nga enteseganya zabwe wabweru wa Kkooti bwezigenda mu maaso.

Kintu alabiseeko mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Fidelis Otwao agobye okusabakwe era omusango nagwongezaayo okutuusa nga June 19th 2023 gutandike okuwulirwa.

Pulida ono avunaniddwa emisango  j’okwefuula kyatali n’okukozesa olukujjukujju najja ensimbi obukadde 195 ku kampuni ya Interlink Education Services Ltd nga abasubizizza okubaguzza ettaka e Gimbo mu Wakiso bazimbeko essomero natakitukirizza.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Sharifah Nidoi, luzze nga lwetegese okutandiika okuwooza omusango guno era nga lubadde luleese n’omujjulizi.

Oludda lwa munnamateeka Kintu Nteza nga lukulembeddwamu munnamateekawe Geoffrey Omaset, bategezezza kkooti nga bwebasazeewo n’omukyala omu ku badukanya kampuni ya Interlink Education Services Ltd bategeranire wabweru wa kkooti ku musango guno wabula nga tewali kiraga kyonna nga bwebatuuse ku nzikiriziganya eno ekiviriddeko omulamuzi okugoba okusaba kwabadde ataddemu.

Kigambibwa munnamateeka ono ensimbi yazifuna nga 27th  August 2013  ne nga 05th August 2014  nga asinziira ku ofiisiye kukizimbe kya  E-Tower eya ku Kampala road nga yefuula adukanya Estate y’omugenzi Kamya George esangibwa e Gimbo mu Wakiso District