Amawulire

Okunonyereza mu musango gwómusirikale eyatta Omuyindi kugenda mu maaso

Okunonyereza mu musango gwómusirikale eyatta Omuyindi kugenda mu maaso

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Okunoonyereza ku musango gw’obutemu oguvunaanibwa omuserikale wa poliisi Ivan Wabwire agambibwa okutta omuyindi omuwozi wa ssente kukyagenda mu maaso.

Bino bizuuliddwa enkya ya leero omuwaabi wa gavumenti Ivan Kyazze.

Ategeezezza akulira kkooti ya Buganda Road, Ronald Kayizzi nti okunoonyereza kuli mu mitendera egisembayo era kati balinze lipoota y’omusawo we by’omutwe okuzuula embeera y’obwongo bw’omusirikale ono nga tannaweebwayo mu kkooti enkulu awozesebwe.

Oludda oluwaabi lugamba nti Wabwire, eyali akola ne Poliisi ya Central Police Station mu Kampala nga May 12th 2023 ku Raja Chambers ku luguudo lwa Parliament Avenue yatta Uttam Bhandari mu ngeri emenya amateeka.

Omusango gwongezeddwayo okutuusa nga July 27th 2023 okwongera okwogerwako.