Amawulire

Okulungana lwábakulembeze abókuntiko mu FDC lutandise wakati mu byókwerinda

Okulungana lwábakulembeze abókuntiko mu FDC lutandise wakati mu byókwerinda

Ivan Ssenabulya

July 28th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Olukungaana lw’abakulembeze abókuntiko mu kibiina kya FDC olwa national council lutandise ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi mu Kampala ekya ya leero yadde nga ambeera essoose kuba ya bunkenke era nga ne poliisi eyitibwa okukuuma e mirembe.

Olukungana luno lugidde mu kaseera nga abakulembeze bekibiina bali mu kwosongamu nwe ngéntabwe eva kunsimbi ezigambibwa okuba nti zaava mu gavumenti ne ziweebwa Ekiwayi kya Ssaabawandiisi wékibiina Nandala Mafabi ne Senkagale wékibiina Patrick Amuriat mu kulonda kwa 2021.

Omwogezi wékibiina Ibrahim Semujju Nganda, ayagala wabeewo embalirra kunsimbi zino newa gyezaava wabula ye Senkagale wékibiina Amuriat agamba tajja kwogera nsimbi gyezaava.

kati olunaku lwaleero abakulu basuubirwa okuvaayo ne alipoota kumbeera ereetedde ekibiina okuyulikamu bibiri.

Ye amyuka Senkagale wékibiina mu Buganda Erias Lukwago, agaaniddwa okuyingira ku kitebe nadda gyavudde.

Ono avumiridde embeera eri ku kitebe naagamba nti ekibiina kyawambibbwa dda.