Amawulire

Okulonda mu Soroti East kwakubaawo nga 28th ogwó 7

Okulonda mu Soroti East kwakubaawo nga 28th ogwó 7

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Akakiiko ke byókulonda katadewo enaku zomwezi nga 28th July 2022 ngolunaku olwokudamu okulonderako omubaka wa Soroti East Constituency mu palamenti.

Ekifo kino kyasigala nga kikalu oluvanyuma lwa kkooti okusazaamu ebyali bivudde mu kulonda

Okusinzira ku kakiiko ke byokulonda olunaku lwelumu abaayo lwebanalonda kansala wa Acetgwen Ward in Soroti City.

Ssentebe wa kakiiko ke byokulonda Simon Byabakama, alaze nti okutereeza enkalala za balonzi kwakutandika nga 10th – 14th June,

Okusunsula abesimbyewo kwakubaawo nga 18th -19th July 2022 ku yaffeesi za kakiiko ke byokulonda mu Soroti City ate kampeyini zitandike nga 21st -26th July 2022.