Amawulire

Okulonda mu Kenya kukyatabula bulungi

Okulonda mu Kenya kukyatabula bulungi

Ivan Ssenabulya

August 9th, 2022

No comments

Bya Juma Kirya,

Okulonda kukyagenda mu maaso okwetoloola eggwanga lya Kenya mu kalulu akagenda okusalawo omuk weggwanga eryo omugya.

okulonda okwatandise ku ssaawa 12 ez’oku makya kwogedwako nga okukyali okwemirembe n’obutebenkevu.

Wabula waliwo wabadewo okwemulugunya okubaluseewo mu bibuga okuli Mombasa, ne Nairobi olw’okulemererwa okuzuula abalonzi mu kweyambisa ebyuma bikalimagezi.

Abalonzi abawerako bakosebwa era abamu bazeeyo ewabwe nga tebalonze.

Omusasi waffe Juma Kirya ali mu kibuga Nairobi aliko byatubulidde mu kifo ebimu okulonda kuluddewo okutandika, ate awamu ne kuyimiriziba olwe byuma bikali magezi okwekyanga naye nga okutwalizaawamu okulonda kwa mirembe.

Akakiiko ke byokulonda mu kenya kategeezeza nga bannansi beggwanga eryo abawera obukadde  6,mwe mitwalo 56 mu 7,869 babadde bamaze okusuula akalulu kabwe weziweredde ssaawa 6 ezomuttuntu lya leero.

Amyuka sentebe wa kakiiko kano, Juliana Cherera, okulonda kwatandise ku ssaawa 12 munda mu ggwanga ne bweru weggwanga okusobozesa buli muntu okukwetabamu obulungi.

Bannakenya mu mawanga 12 okuli Burundi, Tanzania, Rwanda, Uganda, South Africa, United Kingdom, Canada, USA, Qatar, UAE ne Germany nabo beetabye mu kulonda kuno.

Mungeri yemu akakiiko ke byokulonda kasabye bannansi abatataganyizibwamu olwebyuma bikali magezi obutakola bulungi okuba abggumikiriza kuba ensonga eno ekolwako okulaba nti egonjoolwa.