Amawulire

Okulonda kw’ebyaalo kwakusimba mu mugongo

Okulonda kw’ebyaalo kwakusimba mu mugongo

Ali Mivule

June 25th, 2015

No comments

File Photo : Adolf Mwesigye

File Photo : Adolf Mwesigye

Gavumenti etegezezza nga ekya palamenti okuyisa enongosereza mu bbago ly’etteeka lya gavumenti ez’ebitundu bwekwabadde okusalawo okutuufu.

Akawungeezi akayise palamenti y’ayisizza etteeka lino nga kati abantu bakusimba mu migongo gy’abanatu bebawagira mu kulonda kwabassentebe b’ebyalo, abakulira abakyala, n’ababalema ku byalo.

Minisita wa gavumenti ez’ebitundu  Adolf Mwesigye agamba enkola eno tetwala ssente nyingi okusinga okulinda obuwumbi 72 okukubisa obululu sso nga n’ensimbi teziriiwo mu kiseera kino.

Wabula waliwo abamu ku babaka abawakanya eky’okusimba mu mugongo nga bagamba kyakuleeta eby’okugulirira mu by’obufuzi, ebutabanguko mu maka n’obukyayi kubanga buli alaba munne gw’aba alonze.