Amawulire

Okulonda kwe Kenya tekunajumbirwa.

Ivan Ssenabulya

October 26th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Mu gwanga lya Kenya okulonda kwatandise ku saawa  12 ez’okumanyaka , wabula nga nakaano abalonzi bakyaganye okuwera mu bifo ebimu.

Kinajukirwa nti kuno kulonda kwa mulundi gwakubiri, oluvanyuma lwa kooti okusazaamu okwaliwo nga 8th august.

Kati Muntu waffe Herbert Ziwa aliyo atubuulide nti mubifo nga Gatundu President Uhuru Kenyatta gyalondera yo enyiriri mpavu ebitagambika, songa mu Kisumu teri kabonero kalaga nti okulonda kunaabayo.

Nga ogy’eko okwekalakaasa okuli mu Kisumu, embeera ekyali nzikakamu, era nga aduumira Police yeeno Joseph Boinnet  yatubuulide nti abaserikale emitwalo 13 bebakuumye okulonda kuno.