Amawulire

Okulonda kwábayizi e Makerere kwakubeera ku mutimbagano

Okulonda kwábayizi e Makerere kwakubeera ku mutimbagano

Ivan Ssenabulya

November 10th, 2022

No comments

Bya Damali Muhkaye,

Abakulu ku university e Makerere bafulumizza ebiragiro ebikakali ebinagobererwa mu kulonda obukulembeze bwa bayizi.

Okulonda kwakubeerawo mu February 2023 nga byonna byakukolebwa okuyita kunkola eyomutimbagano.

Bano okuvaayo bwebati kyadirira omuyizi wa UCU okufa ku ntandikwa y’omwaka guno mu kulonda akulira abayizi e Makerere.

Okusinziira ku biragiro ebifulumiziddwa ebirabidwako Dembe FM, enkola y’okulonda ey’okusunsulamu, kampeyini, okulonda, okubala n’okulangirira ebinaava mu kulonda egenda kukolebwa ku byuma bikalimagezi akakiiko k’ebyokulonda ak’abayizi kuttendekero lino.

Okusinziira ku Ssentebe w’olukiiko lwa Yunivasite, Lorna Magara, ebisaanyizo by’okuvuganya ku bifo byonna eby’obukulembeze bijja kuba bya bayizi bokka abawandiisiddwa mu ngeri entuufu.

Akakiiko k’ebyokulonda aka Guild kajja kukola okumanyisa abayizi nga bakozesa emikutu gy’amawulire n’ebyuma bikalimagezi okumala ebbanga lyonna ery’okulonda era bonna abaagala okwesimbawo bajja kuwaayo foomu zaabwe ez’okusunsulamu okuyita ku mutimbagano.