Amawulire
Okulonda kwa NRM kwongezeddwaayo
Ab’ekibiina kya NRM balangiridde nga bwebongezzaayo okulonda kw’akamyufu okubadde okwaleero okutuusa olunaku olw’enkya.
Akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kekalangiridde kino awatali kunyonyolwa kwonna.
Ab’ekibiina bakulonda abanabakwatira bendera ku bubaka bwa palamenti ssaako nebassentebe b’ebyalo.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ka NRM Dr.Tanga Odoi agamba akakiiko kazibye buli muwatwa omuntu mwayinza okubbira obululu nga era bakolagana n’ebitongole ebikuuma ddembe okukuuma wonna ewalonderwa.