Amawulire

Okulonda kwa gavumenti zebitundu kutandiise

Okulonda kwa gavumenti zebitundu kutandiise

Bernard Kateregga

February 24th, 2016

No comments

File Photo: Omuyimbi Ragga Dee ngava okujayo form

File Photo: Omuyimbi Ragga Dee ngava okujayo form

w’owulirira bino nga bannayuganda batandise okugenda webalondera okulonda bassententebe bazidisitulikiti, loodi meeya wa Kampala nebakansala ku disitulikiti.

Wabula akalulu abasinga kebesunze kekaloodi meeya nga Erias Lukwago ayagala kwediza ntebe ye.

Lukwago avuganya ne munna NRM Daniel Kazibwe eyeyita Ragga Dee wamu ne munnademocratic party Issa Kikungwe.

Lukwago asuubirwa okulondera  wali e Wakaliga, Mbalwa ku ssaawa 5 ez’okumakya sso nga ye Ragadee asuubirwa Makindye ku ssaawa 3 ezokumakya.

Wabula getufunye nti abalonzi bakya batono ddala nga n’abaaa b’amasomero balabiddwako nga baweese ensawo bagenda kusoma.

Kati katugendeko eri abasasi baffe abenjawulo batutegeeze ekigenda mu maaso

Ku disitulikiti e Wakiso abaagala obwa ssentebe kuliko ssentebe aliko kati munnaDP DP Matia Lwanga Bwanika, Jonah Nsubuga ne munna FDC Haruna Kyeyune.

Ssentebe  Matia Lwanga Bwanika asuubirwa okulondera ku ekeleziya ya St. Jude Catholic Church Namulanda ku ssawa 4 ez’okumakya.

Okulonda wonna kutandika ku ssaawa 1 eyokumakya kukomekerezebwe ku ssaawa 10 ez’olwegulo.