Amawulire
Okulonda kwa 2021: BannaYuganda baali basubidde ddukadduka
Bya Benjamin Jumbe
Abantu 7 ku buli bantu 10, nga bakola 68% baali basubidde nti okulondsa kwa bonna okuwejja kujja okugobererwa ddukaddulka nokulwanagana.
Kino baali bagamba nti kijja kuva ku gwebawangudde obutakiriza ebivudde mu kulonda.
Bino bijidde mu alipoota empya eya AFRo-BAROMATER oluvanyuma lwokunonyereza kwebakola wakati wa Decemba ku nkomerero yomwaka oguwedde nemu January 2021, ngokulonda tekunaberawo.
Omukwanaganya wemirimu mu kitongole kino, Kibirige Francis era agambye nti abantu 75% era basubiza nti bajja kukiriza ebinaaba bivudde mu kulonda, atenga 57% balayira obutakiriza ebinavaamu.
Agambye nti 44% bebasubiza okuyita mu makubo agemirembe okuwakanya ebinaava mu kulonda, 21% nebawera okukozesa ryanyi.
Abantu 2,400 bebetaba mu kunonyereza kuno, nga bebabuzibwa okuva mu disitulikiti 124.