Amawulire

Okulonda e Busia kutambula kasoobo

Ali Mivule

January 22nd, 2015

No comments

voting on

Abalonzi mu kulonda kwa ssentebe wa disitulikiti ye Busia bakyaali baamuswaba.

Okuva ku ssaawa 2 okulonda wekwaguddewo, abantu bakyaali baalubatu abajja okusuula akalulu kaabwe.

Bbo abesimbye 2 baasudde dda obululu bwabwe.

Munna DP  Deo Njoki alondedde ku ssomero lya  Buhorwe primary ate munna NRM Sam Owundo Wanyama alondedde  Busiabala.

Bbyo eby’okwerinda bikyali gguluggulu nga abserikale ba poliisi bayiiriddwa buli wamu nga waaliwo n’abantu abakwatiddwa mu bitundu ebitali bimu.