Amawulire

Okulamula ogwa Opio kwanga 18 March

Okulamula ogwa Opio kwanga 18 March

Ivan Ssenabulya

January 12th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti enkulu mu Kampala etaddewo olunnaku lwanga 18 March 2022 okuwa ensala yaayo ku musango, oguwakanya ekiragiro kya gavumenti okuyimiriza emirimu gyekitongole kyobwanakyewa ekya Chapter Four Uganda.

Omulamuzi Musa Ssekaana yeyakoze ekiragiro kino, enjuuyi zombie bwebalabiseeko nebalaga nti ddala bagoberera ekiragiro okutekayo ensonga zaabwe zonna mu buwandiike.

Omusango guno gwawaabwa oluvanyuma lw’ekitongole kya NGO Bureau ekyayita nga 18 August 2021 nga baggala nokuyimiriza emirimu gya Chapter Four Uganda.

Okusinziira ku Stephen Okello akulira NGO Bureau, Chapter Four Uganda baagiggala awamu nebitongole nakyewa 53 olwobutagoberera mateeka agabatwala.