Amawulire

Okulaga enkalala zá balonzi mu Omoro kufundikiddwa

Okulaga enkalala zá balonzi mu Omoro kufundikiddwa

Ivan Ssenabulya

May 5th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Akakiiko ke byokulonda kamaliriza okulaga enkalala za balonzi mu kudamu okulonda omubaka wa palamenti owa Omoro County.

Omulimo guno gwali gwatandika nga 25th April wabula gwakkomekerezebwa olunaku lweggulo.

Mu kwogerako ne Dembe FM akulira ebyokulonda mu Omoro, Moses Kagona agambye nti omulimo guno gwatambudde bulungi yadde nga basumbuyibwamuko ku nkuba ebadde efuddemba.

Ono agambye nti kati ekisigalidde kwekukola okwebuuza okusembayo ku lukalala lwa balonzi olwategekedwa oluvanyuma lwabantu okukebera amaanya gaabwe, nga kati bakugyamu abaafa na basenguka.

Okudamu okulonda omubaka wa palamenti mu Omoro kwakubeerawo nga 26th May 2022 nga kino kyadirira eyali omubaka wekitundu kino Jacob Oulanya okussa ogwenkomerero.