Amawulire

Okuggalawo kwakampuni kulaga ebyenfuna ebigudde-KACITA

Okuggalawo kwakampuni kulaga ebyenfuna ebigudde-KACITA

Ivan Ssenabulya

September 13th, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses ne Prosy Kisakye

Abasubuzi mu Kampala wansi wekibiina ekibagatta ekya KACITA bagamba nti amakampuni agasajakudde, okutandika okuggalwo okuva mu ganda kyoleka ngeri ebyenfuna bwebigudde.

Bagambye nti embeera ebazibuwalidde, tekyabasobozesa kukolera mu gwanga.

Wetwogerera ngamakampuni okuli ShopRite okuva e South Africa ne Africell eyebyempulizganya gagaddewo.

Ssentebbe wa Kacita Thaddeus Musoke awabudde nti ekyetagisa kwekukyusa mu mateeka gomusolo, obutanyigiriza nnyo basubuzi.

Musoke agambye nti waddenga bamu bakitunuliira nti okuggalwo kwa kampuni zino, kugenda kutumbula amalala aga wano, kiyinza obutasoboka kubanga omusolo gwo gwakusigalwo nga gubanyigiriza.

Yyo minisitule yebyensimbi yategezezza nga bwegenda okutandika okunonyereza ku mbeera eriwo ekalubiriza absubuzi namakampuni okutandika okuggalawo.

Mungeri yeemu, abasubuzi abali mu business entontotono, nga begattira mu kibiina Federation of Small and Medium-Sized Enterprises balaze okutya ku nsonga yeemu.

Akulira absubuzi abatonotono abegattira mu kibiina kino John Walugembe agambye nti kibi nnyo, kubanga kampuni ezo ennene eziggalwo zibadde zibawa ku mirimu ngabsubuzi abatonotono.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *