Amawulire

Okugema enkwa n’eddagala lya NARO kugenda kutandika

Okugema enkwa n’eddagala lya NARO kugenda kutandika

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2021

No comments

Bya Tom Angurin

Gavumenti okuyita mu kitongole kya National Agricultural Research OrganizationNARO etegezezza nga bwegenda okutandika okugema okwenkwa okwawamu, nga bakozesa eddagala eryavumbuddwa banasayansi ba wano.

Eddagala lino ligenda kutandika okukozesebwa mu Decemba ku nkomerero yomwaka guno, wabulanga lyakutekebwa ku katale mu June womwaka ogujja.

Kuno kuliko ekika kya Brown ear tick, blue tick, bont tick ne cocktail 1, 2 ne 3 nga lyonna ligenda kukozesebwa mu kugema.

Kino kyabikuddwa ssenkulu wa NARO Dr Ambrose Agona bweyabadde ku mukolo gwolunaku lwemmere oba World Food Day e Kawanda.

Kino kigenda kutaasa ensimbi za gavumenti obwesedde 3 nobuwumbi 700 ezibaddenga zikozesebwa okuleeta kuno eddagala erigema enkwa okuva ebweru wegwanga.