Amawulire

Okugaziya oluguudo olwa Nothern bypass kuggwa mu 2020.

Ivan Ssenabulya

January 25th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa.

Ekitongole ekikola ku by’enguudo ekya UNRA kitegeezeza nga omulimo ogw’okugaziya oluguudo olwa Northern by pass ogwatandika mu 2014, nga gulina okuggwa mu 2018 ate bwekizuuse nga gwakuggwa mu 2020.

Buno obweyamo buwereddwa akulira eby’okukuuma enguudo mu kitongole kino Eng. Samuel Muhoozi, nga ono agambye nti guno omulimo gukandaliriride olw’okusomozebwa okutaasoka kulengererwawo

Ono agamba nti okulwawo kuno okusinga kuvudde kukyakuliyirira  banyani taka, nadala abataaliwo , songa ate abalala baali basaba ensimbi buwanana.

Wabula kati Muhoozi agamba nti buli kyetagisa kiwedde, kale omuli guno gwakwanguwa.