Amawulire

Okuddukirira obuganda- Enkola yiino

Ali Mivule

February 19th, 2014

No comments

Katikkiro news

Abaganda n’abaagaaliza obuganda ebirungi bajja kusobolanga okuyambako mu kubukulakulanya.

Obwakabaka bwa Buganda olwaleero bukwataganye ne banka ya Centenary okutongoza enkola enasobozesa abantu okutoola nebawaayo okukulakulanya Obuganda.

Mu nkola eno omuntu assa ssente ku akawunta ya Bugandaeri mu Centenary Bank era nga wano aba aliko ettofaali ly’atadde mu kukulakulanya Obuganda.

Ng’atonza enkola eno etuumiddwa Buganda Twezimbe, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga agambye nti kino kikoleddwa okulaba nti abaganda bonna bakwatiza wamu mu kukulakulanya obuganda.

Osobola n’okukozesa essimu yo okusindika ensimbi zino ng’ogenda ku ssimu yo n’onyiga  *211#n’ogoberera ebikugambibwa