Amawulire

Okudamu okulonda omubaka wa Serere county kwa kubaawo nga 23rd omwezi ogwo 2

Okudamu okulonda omubaka wa Serere county kwa kubaawo nga 23rd omwezi ogwo 2

Ivan Ssenabulya

January 4th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Akakiiko k’ebyokulonda kafulumizza enteekateeka mu kudamu okulonda kw’omubaka wa Palamenti mu kitundu ky’e Serere County mu Disitulikiti y’e Serere.

Paul Bukenya omwogezi w’akakiiko agamba nti enteekateeka egenda kutandika n’okutereeza enkalala z’abalonzi okuva nga 6th okutuuka nga 10th January.

Okusunsulamu abesimbyewo kugenda kubeerawo ku nga 9th ne nga 10th January, 2023 ku ofiisi y’akulira ebyokulonda mu kitundu ekyo.

Olwo abesimbyewo abasunsuddwa bakutandika okunonya akalulu nga nga 13th okutuuka ku -21st February, 2023.

Ate okulonda kubeerewo nga 23rd feb.

Ekifo kino kyasigala nga kikalu oluvanyumwa lwe yali omubaka we kitundu mu palamenti Patrick Okabe,okufiira mu kabenje ku luguudo oluva Tirinyi- Kabale nga 19th December 2022.