Amawulire

Okubala obululu mu kulonda kwa EALA kutandise

Okubala obululu mu kulonda kwa EALA kutandise

Ivan Ssenabulya

September 29th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Okulonda abakiise ba EALA kutandise akawungeezi ka leero oluvannyuma lw’okumaliriza kampeyini ezikubiriziddwa amyuka sipiika, Thomas Tayebwa.

Abeesimbyewo 28 kati balindirira ebinaava mu kubala obululu.

Munna DP Gerald Siranda agamba nti agenda empagi eyesigamwako okuleeta obumu mu mawanga ga nnamukago.

Ate ye Mary Mugyenyi okuva mu kibiina kya NRM agamba nti akkiririza mu kwegatta kw’ekitundu kya East Africa okukomya amawanga okusabiriza ensimbi z’abagabi b’obuyambi.

Dennis Namara, agamba nti ekitundu kya East Africa kirina okusindiikiriza okwegatta kwa ssemazinga Africa okusobola okukulaakulana mu by’enfuna.

Mungeri yemu Munna UPC Fred Ebil asuubiza okukola ku butakkaanya obuliwo wakati wa ba-Karamaja naba Turkana mu Kenya