Amawulire

Okubala obululu mu KENYA kugenda mu maaso, ebivudde mu kulonda si byakulangirirwa leero

Okubala obululu mu KENYA kugenda mu maaso, ebivudde mu kulonda si byakulangirirwa leero

Ivan Ssenabulya

August 10th, 2022

No comments

Bya Nation Media ne Rita Kemigisa,

Akakiiko ke byokulonda mu KENYA kategezeza nga bwekatagenda kulangirira bivudde mu kulonda omuk weggwanga eryo omugya leero.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu kifo obululu webugatirwa, akaulira akakiiko kano, Wafula Chebukati, agambye nti yadde nga ssemateeka abalagira okulangirira omuwanguzi munnaku 7 bakola buli kisoboka okugatta ebyavudde mu kulonda era babifulumye

Okubala obululu kukyagenda mu maaso mu gwanga lya Kenya okulondako agenda okubeera omukulembeze w’eggwanga omugya okudda mu bigere bya President aliko Uhuru Kenyatta.

Okusinziira ku mukutu gwa BBC, abadde omumyuka wa President, William Ruto  afunye obululu buyitirivu ku gwavuganya naye Raila Odinga, ku kifo Omukulembeze weggwanga lya Kenya, Uhuru Kenyatta walondera ku Mutomo Primary School erisangibwa mu Gatundu South mu massekati g’eggwanga lya Kenya.

Ebivudde mu kubala obululu mu kitundu ekyo bitegeezezza nti omugatte gw’obululu 983 Ruto bwafunyewo ate Laila Odinga nafunawo obululu 464.

Naye ng’okubalala obululu bwekukyagenda mu maaso, ebyakafulumizibwa akakiiko k’eby’okulonda e Kenya biraze nti William Ruto alinako obululu ebitundu 49% ate Laila Odinga ebitundu 48%