Amawulire

Okubala Bannauganda kwa mwaka gujja

Okubala Bannauganda kwa mwaka gujja

Ivan Ssenabulya

September 29th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS) kitegeezezza nti okubala abantu mu ggwanga kugenda okutandika nga 10 May 2024.

Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, Dr Chris Mukiza, akulira ekitongole kino, agambye nti omulimo guno mu ggwanga lyonna gwakumala ennaku 10.

Nga July 16th, ekitongole kino kyasaba okuweebwayo obudde obulala okwetegekera okubala amayumba n’abantu mu ggwanga omwaka guno.

Wabula oluvanyuma bategeeza nti yadde nga bafuna ensimbi okuva mu minisitule eye byensimbi ebintu ebirala omuli, ebyókugula, okuwandiika n’okutendeka abakozi mu kubala abantu byali bikyalindiridde.

Mukiza agattako nti ezimu ku nsonga ezaaviirako okubala abantu okwongezebwayo zaali nti okukola maapu tekunnaggwa, wabula kati ebitundu 72% ebiwedde.