Amawulire

Okubala abantu- wasigaddeyo ennaku 100

Ali Mivule

May 19th, 2014

No comments

 National census

Ekitongole ekikola ku miwendo gy’ebintu kitandise okubala ennaku ezisigaddeyo okubala abantu mu ggwanga lyonna kutandike

Olwaleero ekitongole kino kitongozezza ennaku 100 okutuuka ku mulimu guno.

Mu nnaku zino, bagenda kwongera okubangula abantu ku nteekateeka eno abantu okugitegeera obulungi.

Akulira ekiwayi ekikola ku mulimu guno Francis Mashete agamba nti betegese bulungi era nga buli kimu kiri mulaala.

Okuwandiisa abantu kwakutandika nga 28 omwezi gw’omunaana kukomekkerezebwe nga 6 omwezi gw’omwenda

Okubala abantu okwasemba okubaawo kwali kwa mumwaka gwa 2002