Amawulire

Ogwókuggala ensalo gulamuddwa

Ogwókuggala ensalo gulamuddwa

Ivan Ssenabulya

June 23rd, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti etawuluza amawanga agali mu buvanjuba bwa ssemazinga Africa eya East African Court of Justice enenyeza gavt ya Rwanda okuggala ensalo mu bitundu ebyókunsalo ne Uganda okuli Cyanika Gatuna ne Mirama Hills.

Abalamuzi abatuula mu kkooti eno nga bakulembeddwamu, DR.Yohane Masara bagambye nti ekikolwa kino kyamenya ssemateeka agafuga amawanga gannamukago naddala akawayiro aka 5, 6,7.

Kkooti eno era etegezeza nti kyali kikyamu Rwanda okugaana okutambula kwa bantu okuva mu Uganda okuyingira Rwanda nabava e Rwanda okudda e Uganda.

Abalamuzi balabudde gavumenti ya Rwanda obutadamu kutyoboola mateeka agali mu east African treaty.

Omusango guno gwatwalibwa mu kkooti eno munnamateeka steven Kalali mu mwaka gwa 2019.