Amawulire

Ogwa Ssebuufu nate tebagulamudde

Ogwa Ssebuufu nate tebagulamudde

Ivan Ssenabulya

June 17th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Okulamula omusango gwobutemu, oguvunanibwa omusubuzi we mmotoka owekibanda kya Pine Muhammad Sebuufu tegugenze mu maaso, omulundi ogwokubiri.

Olwaleero kooti nateebadde asubirwa okulambula omusango guno, wabula gwongezeddwayo okutukira ddala nga nga June 24th 2019 omuwandiisi wa kooti Tumwebaze Ayebale kwolumulamuzi, Flavia Anglin Senoga atabaddewo.

Sebuubu ne banne bwebavunanibwa abadde alabiseeko, wabula nebakabatema nti omulamuzi mulwadde.

Bano bavunanibwa okutemula omusubuzi Donah Betty Katushabe, mu mwaka gwa 2015 olwe bbanja lya bukadde 9 ku mmotoka gyebaali bamuguza.
Kinajjukirwa 30th May era kooti teyasobola, kulamula musango guno, ngolunnaku bwelwali lulambikiddwa, kubanga ennamula yali tebanajitegeka bulungi.