Amawulire

Ogwa Sahaka gwa nga 18

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

Kashaka

Kkooti etaddewo olunaku lwa nga 18 omwezi guno okuwulirako okusaba bw’okujulira okwakolebwa eyali omuwandiisi w’enkalakkalira mu gavumenti z’ebitundu John Kashaka

Kashaka yasingisibwa omusango gw’okulya ensimbi z’obugaali era nebamussaako envumbo obutaddamu kukolera gavumenti okumala emyaka 10.

Omulamuzi Catherine Bamugemereire era yamulagira okusasula obuwumbi 4 zeyalya

Kashaka yeeyekka eyakajulira ebyasalibwaawo nga kati ayagala akkirizibwe okujulira

Awadde ensonga y’emyaka nti ekoonye 60 ate nga y’alabirira abantu be yekka