Amawulire

Ogwa Lukwago gwa lwakuna

Ali Mivule

August 19th, 2014

No comments

LUkwago wina

Kkooti ey’okuntikko mu ggwanga kyaddaaki ataddewo olunaku kw’enasalirawo eggoye ku nsonga za loodimeeya Erias Lukwago

Kino kigenda kubaawo nga 21st omwezi gw’omunaana lwe lunaku lw’okuna ku ssaawa nnya ez’oku makya

Mu mwezi gw’okuna, kkooti eno yamaliriza okuwulira okwemulugunya kwa Lukwago mw’ayita okusaba nti kkooti eyise ekiwandiiko ky’enkomeredde ekiragira nti emiziziko gyonna egimulemesa okudda mu ofiisi giveewo

Ono awakanya n’ekiragiro ekyaweebwa omulamuzi Steven Kavuma eyalagira nti Lukwago ave mu ofiisi okutuuka ng’ensonga ze zikoleddwaako mu bujjuvu

Abalamuzi bataano beebagenda okuwa ansala yaabwe nga kuno kwekuli Benjamin Odoki, Esther Mayambala, John Tsekoko, Galdino Okello ne Christine Kitumba.

Lukwago yagobwa mu ofiisi mu December w’omwaka oguwedde, ba kansala abatuula nebamujjamu obwesige yadde waaliwo ekiwandiiko kya kkooti ekiyimiriza buli kimu era okuva olwo taddangamu kugitereera mu