Amawulire

Ogwa Kyabazinga tegusaliddwa

Ogwa Kyabazinga tegusaliddwa

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omuwandiisi wa Kkooti enkulu, Fred Waninda ayongezaayo ensala yómusango ogwawawabirwa Kyabazinga wa Busoga, William Gabula Nadiope ogwokutwala Nnamulondo mu bukyamu.

Waninda olunaku lweggulo yabadde alangiridde nga olunaku lwaleero bwebagenda okuwa ensalawo yómusango guno wabula enjuyi zombie mu musango guno bwezirabiseeko mu kkooti ate ategezeza nga bweyawubisiddwa fayilo ezamusindikibwa omulamuzi eyaguli mitambo Jeanne Lwakakoko.

Ono kati agambye nti bakulaga olunaku olulala kkooti lwenawerako ensala yaayo.

Omusango guno gwatwalibwa mu kkooti omulangira Edward Columbus Wambuzi, nga awakanya okulondebwa kw’omulangira William Gabula nga Kyabazinga wa Busoga omugya oluvanyuma lwokufa kweyaliko Henry Wako Muloki