Amawulire

Ogwa Kirumira gusalwa ku lwakutaano

Ogwa Kirumira gusalwa ku lwakutaano

Ivan Ssenabulya

December 21st, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti enkulu mu Kampala etaddewo olwokutaano nga December 23rd okusalawo oba abantu ababiri abavunaanibwa okutta omusirikale wa poliisi ASP Muhammad Kirumira ne resty Nalinya, balina omusango gwe balina okwanukula oba nedda.

Ensala eno ebadde erina kuweebwa leero naye omulamuzi aguli mumitambo, Margaret Mutonyi kigambibwa nti afunyemu buzibu negutagenda mu maaso.

Kati Abubaker Kalungi agambibwa okuba omutemu omukulu mu musango guno, avunanibwa wamu ne ne Hamza Mwebe baddizibwayo mu kkomera e Luzira okutuusa ku Lwokutaano.

Kalungi ow’emyaka 47 omubazzi era nga mutuuze w’e Kibutika-Ndejje e Makindye Sabagabo ne Hamza Mwebe kigambibwa nti baakuba Kirumira ne Nalinya amasasi nga September 8th 2018 ku ssaawa nga munaana ez’ekiro e Bulenga.

Oluvannyuma Kirumira ne Nalinya baddusiddwa mu ddwaaliro e Lubaga ne Mulago gye baafiira.