Amawulire

Ofiisi z’abalwanirira eddembe zimenyeddwa

Ali Mivule

May 5th, 2014

No comments

HURINET

Poliisi ekyagenda maaso n’okunonyereza ku bazigu abayingiridde ofiisi z’ekibiina ekirwanirizi ky’eddembe ly’obuntu ekya Human right network Uganda wali e Ntinda nebabbamu byabukadde.

Poliisi ekifo kyonna ekizinzeko nga okunonyereza bwekukyagenda maaso.

Okusinziira ku omu ku bakulira ekibiina kino Patrick Tumwine,ebisinga byabiddwa nga n’omukuumi wa ofiisi talabikako.

Ebyabiddwa kuliko zi kompyuta , kamera z’ekikessi, ebiwandiiko n’ebirala