Amawulire

Obwakabaka bwa Buganda bwagala Gavt ekole okunonyereza okujjuvu kunfa ya Minisita

Obwakabaka bwa Buganda bwagala Gavt ekole okunonyereza okujjuvu kunfa ya Minisita

Ivan Ssenabulya

May 6th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Obwakabaka bwa Buganda busabye gavumenti eya wakati ekole okunoonyereza okujjuvu ku nfa y’abadde minisita w’abakozi, Charles Engola.

Engola yakubiddwa amasasi agaamuttiddewo omukuumi we ku Lwokubiri lwa wiiki eno mu maka ge e Kyanja mu kitundu kya Kampala bwe yali yeetegekera okugenda mu lukiiko lwa kabineti.

Wabaddewo ebigambibwa nti omukuumiwe Wilson Ssabiiti yatta minisita bweyali anyiize olw’okulwawo okusasulwa omusaala gwe kyokka ng’alina ebizibu bingi ebyali byetaagisa ensimbi okubikolako.

Omwogezi w’obwakabaka bwa Buganda, Noah Kiyimba ayagala gavumenti ebikkule amazima amatuufu agali emabega w’ettemu lya minisita mu kifo kyokudda ku byokuteebereza.

Mungeri yeemu ategeezezza nti singa ensonga y’omusaala ezuulibwa nga y’evuddeko Engola okuttibwa, gavumenti erina okulaba ng’abakozi baayo basasulwa mu budde okwewala ekintu ekifaananako bwe kityo okuddamu okubaawo.