Amawulire

Buganda Erabudde kungeri Enngosereza mu Ssemateeka Gyezikwatiddwamu

Ivan Ssenabulya

September 29th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Obwakabaka bwa Buganda bulabudde ku nsonga zokukola ennongosereza mu ssemateeka, nengeri gyezikwataiddwamu nti kino kireseewo obunkenke mu gwanga.

Mu kiwandiiko ekifulumye eri bannamwulire, ekitereddwako omukono gwa Kamalabyonna wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga ,obwakabaka bubadde bulaba nokolondoola buli ekibadde kigenda mu maaso naddala ku palamenti mu nnaku ebbiri eziyise.

Kattikiro agambye nti ekikwata ku ssemateeka we gwanga kikwata ku buli munn-Uganda kalenga nabantu ba Buganda bakwatibwako mungeri yeemu.

Owembuga asasidde bonna abakoseddwa mu kanyolagano akabadde ku palamenti ate nemu bitundu bye gwanga ebirala.