Amawulire
Obwakabaka bulabudde abagaba sikaala ezóbulimba
Bya Shamim Nateebwa,
Minisita mu bwakabaka bwa Buganda avunanyizibwa ku byenjigiriza Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma,alabudde abakulu bamasomero okwewala okugaba sikaala zóbwakabaka ezóbulimba.
Okusinzira Owek Nankindu era waliwo amasomero mangi agagabira abayizi sikaala zóbwakabaka ate olumala ne babasaba ne sukuulu fiizi nasaba kino kikome bunnambiro.
Anyonyodde nti obwakabaka bwakudamu okugaba sikaala wabula bafuna okutataganyizibwa okwembeera ye kirwadde kya covid-19.