Amawulire

Obuwumbi bwénsimbi 100 zinunuddwa okuva mu balyake

Obuwumbi bwénsimbi 100 zinunuddwa okuva mu balyake

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Gavumenti ng’eyita mu bitongole byayo ebirwanyisa obuli bw’enguzi egamba nti esobodde okununula ensimbi z’omuwi w’omusolo ezisoba mu buwumbi 100 mu mwaka gumu.

Minisita omubeezi avunanyizibwa ku mpisa n’obuntumbulamu Rose Lilly Akello, agamba nti kano kabonero akongera okulaga nti gavumenti mmalirivu okulwanyisa ebikolwa eby’obuli bw’enguzi.

Minisita abadde ayogerako eri abamawulire ku media center mu Kampala.

Mu nsisinkano yemu, kalisoliiso wa Gavumenti Beti Kamya ayongedde okukunga abantu okwenyigira mu lutalo lw’okulwanyisa enguzi kuba ly’ekkubo lyokka ely’okulwanyisa enguzi.

Agamba nti Uganda efiiriwa obusse 10 mu buli bw’enguzi buli mwaka.