Amawulire

Obuwumbi 100 z’ezigenda okugula kasooli ku balimi

Obuwumbi 100 z’ezigenda okugula kasooli ku balimi

Ivan Ssenabulya

August 8th, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Abalimi ba kasooli mu gwanga basabiddwa obutakiriza basubuzi kugula kasooli waabwe, ensimbi ezikka wansi wa 500 kiro.

Olwaleero minisita webyensimbi Matia alangiridde nga entekateeka ya gavumenti, bwetandise okuyamba abalimi, oluvanyuma lwa kasdooli okukkak okutuuka ku nnusu 200.

Bwabadde ayogera ne banamwulire ku media centre mu Kampala minister agambye nti, obuwumbi 100 bwebutereddwa ku bbali nga bagenda kuziwola abasubuzi, ku magoba nga 15% abagala bagende bewole, bagule kasooli ono.

Ensimbi zino zigenda kutekebwa mu Agriculture credit facility scheme.

Mu ntekateeka yonna atenderezza nti abalimi bagenda kuganyulwa.