Amawulire

Obuwanguzi bwa Katuntu bunywezeddwa

Obuwanguzi bwa Katuntu bunywezeddwa

Ivan Ssenabulya

June 2nd, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kooti ejjulirwamu ekakasizza obuwanguzi bwa Abdul Katuntu ku kifo kyomubaka we Bugweri mu palamenti, eyomulundi ogwe 11.

Abalamuzi 3 bebabadde mu mitambo gyomusango guno Cheborion Barishaki, Hellen Obura ne Christopher Madrama nga basizza kimu mu nnamula gyebawadde.

Julius Galisonga yali yaddukira mu kooti ngawakanya okulondebwa kwa Katuntu ngamulumiriza okubba obululu nemivuyo, mu kulonda kwa bonna okwaliwo nga 14 January 2021.

Akakiiko kebyokulonda kalangirira omubaka Katuntu ku buwanguzi, nobululu omutwalo 1 mu 8,813 nga baategeeza nga Galisonga bweyafuna obululu 9,074.

Yasooka kuddukira mu kooti enkulu e Jinja, omusango kooti negugoba kwekweyongerayo mu kooti ejjulirwamu.