Amawulire

obutimba bw’ensiri bukwata nswa

Ali Mivule

May 5th, 2017

No comments

Bya Steven Ariong

Ab’ebyobulamu mu disitulikiti ye  Nakapiripirit district  mu bitndu ye Karamoja kawefube waabwe ow’okulwanyisa omusujja  gw’ensiri yandigwa butaka olw’abatuuze butamanya mugaso gwabutimba bw’ensiri .

Abatuuze bano obutimba obwabaweebwa okwebikka bawone okulumibwa ensiri ezireeta omusujja kati babukozesa kukwata nswa.

Omuze guno guli nyo mu magombolola okuli Nabilatuk, Lolachat, ne  Loregae nga era osanga obutimba obupya bubikiddwa ku biswa waggulu .

Omu ku maama akozesa obutimba buno okukwata enswa Sarah Nakut atutegezezza nti okukozesa akatimba kano essaawa emu yokka gyebakakozesa okukwata enswa tekiyinza kubakozsa kubanga olumaliriza bakooza bulungi nyo nebaddemu nebakebikka.

Agamba atega ogumu taliira nti era akatimba kano babayambye nyo kubanga bakebikka okwetaasa ku nsiri ate mwanawattu nekabayamba n’okutega ensawa.

Akulira eby’obulamu ku disitulikiti ye  Nakapirpirit  Dr.John Anguzu  akaksizza kino n’ategeeza nti abantuuze bano kino kibaviirideko okwonera okulwana omusujja gw’ensiri.