Amawulire

Obutemu bwa mirundi 2 bukoleddwa ku bantu e Rwizi

Obutemu bwa mirundi 2 bukoleddwa ku bantu e Rwizi

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Poliisi mu disitulikiti ye Rwampara etandiise okunonyereza ku butemu obw’emirundi 2 obwakoledwa ku bantu ebenjawulo mu kitundu kino.

Obutemu obwasoose bwakoledwa oluvanyuma lw’enkanyaana ze ze ttaka wakati wa maama ne mutababi we.

Eno kigambibwa nti Arthur Baryamwijuka owemyaka 45 yakidde Mpiirirwe Juliana owemyaka 65 namutta oluvanyuma lwokugaana okumusalira ku kyapa.

Ekikangabwa kino kibadde ku kyalo Buhama e Nyabikungu mu gomboloola ye Rugando.

Abebyokerinda bategezzza nga abantu bwebekunganyiza nebanoonya omusajja ono, wabulanga tanalabwako.

Ejjambiya eyakozesedwa mu butemu buno esangidwa okumpi n’omulambo.

Obutemu obulala bubadde Rwampara, ngeno poliisi ekutte omukyala ow’emyaka 38 olwokwenyigiira mu butemu obwakolebwa ku mukuumi we ssomero lya Rwemiyenje primary school.

Omukwate ye Peace Bogere nga mukozi mu baala emu esangibwa ku kyalo Rwemiyeje mu district Rwampara.

Kigambibwa nti Desire Mugyenyi yatiidwa era omulambo gwe bagusanze mu kitaaba ky’omusayi mu kibira nga yasangidwa n’ebiwundu ku mutwe nemu matu.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kye Rwizi Samson Kasasira ategezezza ng’okunonyereza ku butemu buno bwekutandise.