Amawulire

Obutabanguko mu maka businga siriimu okutta

Ali Mivule

April 27th, 2017

No comments

Obukiika kkono bwa Uganda bwebusingamu abakyala banakampaati abakkakana ku baami baabwe nebabawuttula gyoli bebaami ewaka.

 

Mu kwogerako eri olukungaana ku butabanguko mu maka wali ku Speke Resort Munyonyo, Dr. Jackson Amone kamissiona mu minisitule y’ebyobulamu yategezezza nti abasajja bangi bafiira mu kimugunyu nga bakyala baabwe bababacha empi bisssebo olwokutya okuswala nebasirika.

 

Agamba okusingira ddala kino kivudde ku bakyala okwongera okunywa omwenge nebava mu mbeera.

 

Okusnziira ku bwino aliwo, abasajja abasoba mu 36,000 bebaakubwa mu bukiika kkono bw’eggwanga omwaka oguwedde, abobuvanjuba nebaddirira, nga karamoja abasajja abaakubwa bbo baali batono baali 5000 bokka.

Mungeri yeemu ye  Dr. Anthony Mbonye akulira guno naguli mu minisitule y’ebyobulamu agamba okuva mu 2011 ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna kizze kitegeeza nga obutabaguko mu maka bukwatwa kyakua ku biviirako omwana w’omuddugavu okufa oluvanyuma lw’omusujja gw’ensiri, endwadde z’omutima, kookolo olwo obutabaguko mu maka nebuddako.