Amawulire

Obusimbi butono obusindikibwa mu bitundu

Ali Mivule

September 3rd, 2014

No comments

Local govt have less

Abamu ku bavuganya gavumenti bategezezza nga obutaba nabakozi bamala ku zi disitulikiti bwekikosezza enyo entambula y’emirimu.

Minister wa gavumenti ez’ebitundu mu gavumenti y’ekisiikirize , Roland Mugume ategezezza nga kimu kyakubiri ku zi disitulikiti eziri mu ggwanga bwezitalina bakozi balina buyigirize kuddukanya mirimu.

Mugume kino akitadde ku busente obutono obusasulwa abakozi nga abasinga beebalama emirimu gyino.

Agamba yadde nga pulezidenti Museveni yateekawo obuwumbi obulala 20 okwongeza emisaala gy’bakozi bano, n’okutuusa kati tegyongezebwanga eri ba sipiika, abamyuuka baabwe nebakansala.

Ssentebe w’akakiiko kano Freedom Kwiyucwiny agamba akakiiko kaabwe kaawabula dda minisitule y’ebyensimbi okufunayobobuwumbi obulala nga 18 okwongeza ku misaala gy’abakozi, wabula nga omwaka gw’ebyansimbi guno bafunyeeko obuwumbi 2 bwokka.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *