Amawulire

Obusaanyi bulumbye disitulikiti 38 mu Uganda

Obusaanyi bulumbye disitulikiti 38 mu Uganda

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Prossy Kisakye,

Minisitule eyebyobulamu nóbulunzi nóbuvubi ekakasiza okubalukawo kwobusaanyi obwekika kya African army worm, mu disitulikiti 38 mu ggwanga lino.

Bino byogeddwa minisita omubeezi ow’eby’obulimi Fred Bwino, nga agamba nti obusaanyi buno bwavudde mu mawanga agatuliranye olwebugumu erisuse.

Obusaanyi buno bwabulabe eri emmere kuba kulya emmere yémpeke nómuddo wabula abalimi nábalunzi basabiddwa okusigala nga bakakamu kuba gavt ensonga eno egiriko.

Minisita Bwino anyonyodde nti gavt eguze eddagala erifuyiira obusaanyi buno 3000 litres era lyaweerezedwa dda mu bifo ebyalumbiddwa.

Disitulikiti ezikosedwa kuliko Wakiso, Mukono, Luwero, Kasese, Masindi, Nakaseke, Tororo Kiruhura néndala.

Ate Ababaka ba palamenti batadde ssabaminisita kunninga anyonyole gavt kyeri mu kukolawo okulwanyisa obusaanyi obwabalumbye.

Bino byanjiziddwa omubaka wa Mawogola North Shartis Musherure abuulidde palamenti nti yakategeera disitulikiti 14 ezalumbiddwa.

Ate omubaka wa Tororo South Fredrick Angura, ategezeza nti yadde nga disitulikiti mwava teri emu kwezo ezaalumbiddwa, balambyeko ku busanyi buno nasaba gavt okusitukiramu okutaasa abatuuze oba si ekyo yetegeka okubagulira emmere.