Amawulire
Obunkenke e Masaka bafunye abalwadde ba covid 7
Bya Malik Fahad,
Obunkenke bubaluseewo mu disitulikiti yé Masaka oluvanyuma lwokufuna abalwadde ba covid-19 7 mu bbanga lya nnaku 2 zokka
Mu kwogerako ne bannamawulire ku ddwaliro ekkulu e Masaka, akulira ebyóbulamu mu disitulikiti eno Dr. Faith Nakiyimba agambye nti amawulire gano gabakubye enkyukwe wabula nga kati balina kwegendereza nyo
Nakiyimba abagamba nti abalwadde bonna bateredwa mu busenge okwawulibwa mu maka gaabwe nga bwebetegerezebwa abebyobulamu
mungeriyemu ye akulira eddwaliro lya Masaka regional referral hospital, Dr. Nathan Onyachi, alaze obweralikirivu nti bandiba nga bolekedde omuyaga ogwokubiri okwekirwadde kino nga bwekiri mu mawanga agokumuliraano
Disitulikiti ye Masaka yafunye doozi zeddagala erigema ekirwadde kya covid 4,630 era zatereddwa mu bifo 5 okuli Masaka regional referral hospital, Kiyumba, Kyanamukaka ne Buwunga kko ne walala.