Amawulire

Obungi bwabannaYuganda bugenda kweyongera okutuuka ku bukadde 103

Obungi bwabannaYuganda bugenda kweyongera okutuuka ku bukadde 103

Ivan Ssenabulya

November 12th, 2021

No comments

Bya Tom Angurin

Waliwo alipoota eraze nti omuwendo gwabantu mu Uganda gugenda kweyongera mungeri eyomujirano okutuuka ku bantu obukadde 103 omwaka gwa 2050 wegunatukira.

Alipoota efulumye, gyebatuumye National Population Policy 2020, eraga nti kigenda kuva kungeri abantu gyebongedde okuzaala, naddala abakazi ku myaka emito naddala abali wansi wemyaka 30.

Okusinziira ku akulira ekitongole kya National Population Council abafulumizza alupiita eno nga ye Jotham Musinguzi, mu kubala okwawamu buli mukazi azaala abaana 7 nga wabaddewo okweyongera okuva ku baana 6 nga bwegwali mu 2006 nemyaka egibadde gigoberera.

Ebibalo biraga nti emisinde abantu kwebazalira buli mwaka oba annual population growth rate, wagenda kuberawo okweyongera kwa 3%.

Bwabadde ayogerera ku mukolo kwebatongolezza alipoota eno, omubaka wa Bu-Dutch mu Uganda Dr Karin Boven okuzaala okwomujirano akitadde ku miwaatwa egiriwo eri abantu okufuna obujanjabi obwentegeka yezadde.