Amawulire

Obumenyi bwa mateeka buva ku mateeka amanafu

Obumenyi bwa mateeka buva ku mateeka amanafu

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2022

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti ye Lyantonde Scovia Birungi yennyamidde ku mateeka amanafu mu gwanga, nga kino kyekisinze okuvirako obumenyi bw’amateeka okweyongera.

Birungi agambye nti abantu bakola ebikolobero naye olwamateeka amanafu, kooti emaliriza ebawadde ebibonerezo ebinafu nabamu nebayimulwa.

Asabye palamenti ebayambako okukyusa mu mateeka agamu, naddala ku bantu abamenya amateeka.

Birungi agamba nti abamenyi b’amateeka basaana nebabeera mu nkomyo ebbanga eriwerako nga kino kisobola okukyusa obulamu bwabwe, nebavaayo nga bateredde.