Amawulire

Obulwadde bwa Rabies bukendedde

Obulwadde bwa Rabies bukendedde

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Gavumenti eyongedde okweyama nti bagenda kuluma nogwengulu, okulwanyisa obulwadde bwa rabies bugwerwo ddala, omwaka 2030 wegunatukira.

Akulira emirimu gyokulwanyisa obulwadde buno mu minisitule yebyobulimi, obuvubi nobulunzi Dr Flavia Nakanjako agambye nti baliko entekateeka nnyingi zebatandiseeko okulwanyisa ekizbu kino.

Agambye nti mu myaka 2 ejiyise obulwadde bwa rabies bubadde buekendedde mu Uganda, nga kino akitadde ku ntekateeka ezibadde zikolebwa okugema ebisolo okuli embya ne kkapa ezitambuza obulwadde buno.

Kati mu mwaka gwebyensimbi guno agabye nti baaguze eddagala erigema rabies, doozi emitwalo 70.

Buno bwebubaka obukulembeddemu olunnaku lwenkya.

Uganda egenda kwegatta kunsi yonna okukua olunnaku olwabangibwawo okumanyisa abantu ku bulwadde buno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *