Amawulire

Obukulembeze bwa Amin tebugerageranyizika ku buliwo

Obukulembeze bwa Amin tebugerageranyizika ku buliwo

Ivan Ssenabulya

February 16th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Minisita omubeezi owensonga zebweru wegwanga Henry Okello Oryem avuddeyo okuvumirira ebikolwa ebikyamu mu gavumenti, okutulugunya nebirala ebityoboola eddembe lyobuntu.

Oryem abadde ku NTV amakya ga leero, ngagambye nti obukulembeze bwomugenzi Amin tebugeregeranyizika ku bukulembeze obuliwo.

Agambye nti ekitta bantu nekiwamba bantu ebyaliwo ku mulembe gwa Amin, byakolebwanga gavumenti okwawukana ku bikolwa ebitonotono ebiriwo, ebikolebwa abantu ssekinoomu.

Bino webijidde nga gavumenti enenyezebwa olwebikolwa ebyekiwamba bantu, okutulugunya nebirala ebityoboola eddembe lyobuntu ebibunye egwanga.