Amawulire

Obukiiko obwakoleddwa minista wa kampala bukyaamu

Ali Mivule

March 5th, 2014

No comments

Nambooze

Abamu ku babaka b’oludda oluvuganya gavumenti bakyawakanya ekya minisita wa Kampala Frank Tumwebaze okuteekawo obukiiko bwa bakansala okuddukanya emirimu mu KCCA awatali loodi meeya.

Minista wa gavumenti ez’ebitundu mu gavumenti y’ekisikirize  Betty Nambooze  agamba nti minista akkirizibwa okuyita olukiiko lwa bakansala  ssi kubateeka mu bibinja okukola emirimu gya KCCA.

Agamba amyuka loodi meeya yabaddewo kale nga talaba nsonga lwaki Tumwebaze yetuminkirizza nayita olukiiko luno.

Olunaku olw’eggulo ye minista  Frank Tumwebaze yewozezazako nga enyingo 17 mu tteeka lya KCCA bwerimuwa obuyinza okuyita olukiiko lwa bakansala okutekawo obukiiko buno.